His Royal Highness Kamuswaga Apollo Sansa Kabumbuli II Rwampanja, ayozayozezza abayizzi bona abatuula ebibuuzo by'ekibiina eky'omusanvu omwaka oguwedde ogwa 2020.
Kino kidiridde abayizzi mu district y'eRakai okukola obulunji ebigeezo kyoka nga babituulira mu kiseera ekizibu olwanawokera wasenyiga omukambwe Covid 19 eyatataganya ebyensoma mu gwanga, era Entatembwa esabye abayizzi okukwatira awamu n'abazadde basobole okweyongeerayo kudaala eriddako okusoma bwekunaba kuzemi mungeri yemu asabye abayizzi abatasobodde kukola bulungi baddemu okusoma betegereze kubanga emitti emitto gyegigumiza ekibira . Engo wano wasinzidde n'esaba abazadde okubera abatetenkanya era abakoozi okulaba nga bazaayo abaana kumasomero ekiseera bwekinaba kituse kuba obutasoma buluma bukulu era kinajukirwa nti His Royal Highness Kamuswaga kumatikiirage ag'omwaka guno gatambubuliira kumulamwa ogw'okutangiira okufumbizza abaana ab'obuwala nga tebanetuuka.
Kalalankuma asiimye abasomesa olw'omulimo omulungi gw'ebayoleseza mukubangula abaana ate era nabazadde olw'okuwulira omulanga gwe ogw'okuweleera abaana.
Yinda nnyo ayi Kamuswaga.