Kati osobola okufuuka member mu SACCO yaffe abakooki Kijjanebarora
Co-Operative Saving and Credit Society Limited (KICOSA)
Mutekateka y'okuba nakantu munsawo His Royal Highness Kamuswaga Apollo
Sansa Kabumbuli II Rwampanja agikwasiza namanyi bwasimye
natutonderawo SACCO ettuyambe mukuteleka ate era n'okwewola
akantu( sente) awatali okusosola.
KICOSA era yakuyamba ku bavubuka nga ebbawa Piki Piki z'ekibanja
mpola era zino zatuuka dda kumbuga y'obwakamuswaga ate era n'okuyamba
ko abalimi, abalunzi, abavubi, abasubuzi saako n'ebibina eby'enjawulo
mukooki ne wabwelu wa Kooki nga ebwongera mu akantu ( sente)
Kati ye saawa gwe yenna eyetaaze empeereza eno dduuka bunambiro
wewandise Ku Office za SACCO wano Ku Mbuga enkulu ey'obwakamuswaga bwa
Kooki okuliraana ne Office za Rakai Electoral Commission. Office
ziba nzigule okuva ku monday okutuuka ku Friday saawa 08:00 am -- 05-
00pm ate kulw'omukagga okuva ku saawa 08am - 02:00pm.
Okumanya ebisinga wo kubira manager kusiimu namba +2560773 422227 oba
ku website yaffe www.obwakamuswaga.org.com.
Mukama Katonda kuuma Engo Eyeddembe.
KYEMWAYAGALIZA EMBAZI KIBUYAGA ASUDDE.
