Twebaaza Allah asobozesezza banaffe abayisiraamu okutuuka ku  lunaku lw Eid Adhuha

Eid Adhuha ey'omwaka guno wetukidde nga eggwanga nensi yona tuli mukusomozebwa olw'obulwadde obwatulumba Covid 19 era
obutatusobozeseza kusaalira awamu Eid eno mu masinzizo( mosque) gaffe.

Tusaba okusaddaka kw'omwaka guno, tukukole nga twegayirira Allah  ataase eggwanga olwembera eriwo etasanyusa muntu yenna, Tusabe Allah asuuze  banaffe abalwadde  nabo abaweddemu esuubi olwembera eri mu ggwanga.

Twebaaza ekitongole kyebyobulamu n'omukulembeze  we ggwanga olw'okutulambika obulunji eri obulamu bwaffe ku kirwadde Kya Covid 19 era nsaba abantu mwena okuteeka munkola  ebiragiro ebyo .
 
      Mbagaliza Eid Adhuha ennunji

Kamuswaga Apollo Sansa Kabumbuli II Rwampanja