Abasaawo abakuggu okuva mu ggwanga lya America  bakomakereza leero  okujjanjaba abantu be Entatembwa  ku Ddwaliro ekulu erya Rakai Hospital.

 

Olusisira lwe by'obulamu  olwategekebwa Obwakamuswaga bwa Kooki wamu ne kitongole Kya Operation intentional okuva mu ggwanga lya America   lukomekerezebwa olunaku lwaleero.

 Olusisira luno lwatandiika nga 15th-05-2021 ku ddwaliro eRakai era nga bantu banji abajanjabiddwa kubweleere.

   

Munkolagana ey'omugundu wakati  w'obwakamusawaga ne Kitongole Kya Operation intentional; His Royal Highness Kamuswaga Apollo Sansa Kabumbuli II Rwampanja yasiima abantu be bajanjabibwe ku bweleera awatali wadde nnusu era nga guno mulundi gw'akusaatu  nga olusisira luno lutegekebwa era nga abantu bajanjabibwe ku bweleera.

 

 Abamu ku bantu abajanjabiddwa nabasaawo abakuggu bano, bebaziza nnyo Engo Eyeddembe olw'omutiima gwalina eri abantu awatali kusosola muntu yenna era n'ebebaza n'ebintu byabakoledde  nga bo bana Uganda mumbeera z'obulaamu n'enkulakulana

  Basabye omutonzi Kamuswaga amuwagaaze emyaaka bufukunya.

 

Ye Minister w'ebyobulamu  mu obwakamuswaga owk Luyima Moses akakasiza nti obwakamuswaga bukyagenda mumaaso n'okujanjaba abantu ku bweleere kuba  Kamuswaga ayagala abantu be nga balaamu.

 

Nga 15th-05-2021 abasaawo bano betaba kumatiikira ga Kamuswaga era olwo lwebatandiika obujanjabi obugenda  okukomekerezewa olwaleero.

  Dr Medhat eyakulembeera mu tiimu eno yebaza nnyo Kamuswaga olw'okubaniriza obulunji  munsi ye Kooki era n'okubalaga omukwano. Yakatiiriza  nti bagenda genda mumaaso n'okujanjaba abantu be Entatembwa awatali kweganya.

 

                   YINDA NNYO AYI KAMUSWAGA.