Nga ennaku z'omwezi 14th-05-2021 ebigambo byasanikira ekitimba kimugata bantu, Facebook saako ne Radiiyo wamu ne tiivi nga bagamba nti ennyanja Kijjenebarora egenze!

Banji batandiika okubiira abantu babwe naddala eri abo abayini abenganda zabwe abawangalira ku Nnyanja eno ewanuzibwa nti yajjja balaba.

 

Olwaleero nange nkedde ku lambula Nnyanja eno ndabe ekituffu, Nambudde emyaalo gyona nga  buli wentuuka  tewali buzibu.

 

 Oluvanyuma bandagiridde omwaalo gwe Nkundi- Kisoovu mu Ggombolola ye Kyalulangira nga Kati batwalibwa Dyango era nga yensaalo ya Rakai diisitulikiti ne Isingiro .

 

Omwaalo guno kikono ku Nnyanja Kijjenebarora  era  nagenze okutuuka yo nga amaazi gakalidde ko ekitundu naddala mu bitoogo ne ku mwaalo wenyini amaato wegabadde  gagobeera.

 

Chairman atwaala ekitundu kino  Kasisi Wiliba atutegezeza nti kati guno mulundi gwa kubiiri nga amazzi gano gakalira negatuuka ku "level"Kati gy'egaliko.

 

Ono atutegezeza nti kati obuziibu bwebwolekedde  bwabula lya amazzi nga Kati okufuuna amalungi oteekamu akasente.

Era agaseeko nti kati nabavuubi bakenddede ku mwaalo guno nga nabajja okugula ebyenjanja  bagenze ku mwaalo mulala  olwa amazzi okukendeera.