His Royal Highness Kamuswaga Apollo Sansa Kabumbuli II Rwampanja ajagguzza amatikkira ge ag' ekkumi n' omusanvu(17) nga ali ku ntebe ya Bajjajja be alamula.

 

Amatikkira gano gaabadde mu Ggombola ya Kamuswaga ey,'e Lwanda  kulw'omukaaga nga 15/05/2021.

Amatikkira gano age 17 agaabadde ag'ebyafaayo nga geetabiddwako nnamungi  w'omuntu okuva mu Magombolola 12 agakola obwakamuswaga.

 

okwo nga kw'ogasse n'abagenyi abaavudde mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo.

Abakukunavu bangi abeetabye ku matikkira gano ng'omwo mwe mwabadde ne RDC wa district y'e Rakai  Charles Mubiru wamu n'omumyuka we Justin Muhindo.

Bannabyabufuzi okwo ssaako bannaddiini nabo tebaalutumiddwa mwana.

 

Eyakikiridde omugenyi omukulu Mr Lubega nga ono yeyasomye obubaka bwa PS wa labour,gender and Social development Mr David Kibenge ono  yatenderezza Kamuswaga okubeera omukozi era  yamwebazizza olw'ebyo byonna byakoledde obwakamuswaga nebitundu ebirala munkulakulana  n'okuzimba eggwanga.

Mr Lubega era yebaziza enkolagana eri wo wakati wa Obwakamuswaga ne Government eyawakati ennunji.

 

Ye katuukiro wa Kooki ow'ekitiibwa Haj Idi Kiwanuka yayanjudde olukiiko lwa ba minisita ba Kamuswaga era nga buli omu yaweze okubeera omuwulize eri Kamuswaga wamu n'okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwamukwasibwa Kamuswaga. 

Abakungu ba magombolola ga Kamuswaga ekkumi n'abiri (12) nabo baaweze mu maaso g'engo Eyeddembe   era n'ebeeyama  okukola ennyo okusobola okutuusa Kooki ku ntikko!

 

His Royal Highness Kamuswaga mukwogera kwe y'akubirizza abakooki okubeera abakozi okusobola okweggya  mu bwavu era  babeere n'akantu  mu nsawo.  Entatembwa era yasiimye   n'ekubiriza abantu nti bagende bagemebwe ekirwadde Kya  ssenyiga omukambwe (COVID 19)basobole okwetangira obutakwatibwa era yakkaatirizza nti ye N'ababiito kw'ossa 'Ababiitokati wamu ne  Baminisita be n'abakungu abasinga mu bwakamuswaga bamaze okugemebwa.

 Entatembwa oluvannyuma yasiimye n'eyozaayoza amagombola agaanywedde  mugannaago akendo mu mpaka z'okwemekwa 2021.

 

Kamuswaga yakubirizza abazadde okukuuma abaana abawala era n'okwewala okubafumbiza nga  abato era nga ogwo gwegwabadde omulamwa gw'amatikkira gano ag'ekkumi n'omusanvu.(17).

Ffumu libongera mubwengula y'akubirizza abazadde okuweerera abaana  kubanga be bakulembeze ab'enkya! Entatembwa oluvannyuma yeebazizza ekitongole ky'abasawo ekya "operation international" okuva mu Amerika olw'enkolagana ennungi gyebalina n'obwakamuswaga era n'abakubiriza nti bagende mu maaso n'okujjanjaba abantu be ebirwadde ebikambwe kubwereere.

 

Engo y'eddembe era yasiimye neyeebaza ebitongole okuli ekya Brick by Brick wamu ne world vision olw'enkolagana ennungi n'obwa kamuswaga.olwo n'asembyayo okwebaza olukiiko oluteesiteesi olwakuliddwa ow'ekitiibwa Ddungu nti lwateeseteese bulungi era n'amaliriza ng'akubiriza abakooki 

okubeera abakkakkamu  abagumiikiriza ate n'okwagala ennyo ensi yaabwe era n'asaaba omutonzi abakuume!

      YINDA NNYO AYI KAMUSWAGA.