His Royal Highness Kamuswaga Apollo ssansa Kabumbuli II Lwampanja asiimye n'aggalawo ekikopo ky'okwemekwa 2021 mu ssanyu eringi ennyo.

 

Ekikopo ky'okwemekwa kyekikulemberamu amatikkira ga Kamuswaga era ng'omwaka guno gaakuziddwa mu ggombolola ya Kamuswaga ey'e Lwanda. 

Enteekateeka z'okwemekwa kuno z'aggulwawo nga 12/02/2021 era nga amagombolola 12 agakola obwakamuswaga gonna geetabamu.

Lwanda, Kasankala,Rakai TC, Byakabanda, Kyalulangira, Kiziba, Kacheera, Kifamba, Kibanda, Ddwaniro, Lwamagwa ne Kagamba.

 

Okwemekwa kuno okwakulungudde emyezi esatu era  kwagenze okukomekkerezebwa nga eggombola ya Kamuswaga ey'e Lwanda era omwakuziddwa amatikkira gano  yeyanywedde mu magombolola amalala akendo mu mupiira ogw'abaami.kyokka ate mu kikopo ky'abakyala  kyagenze okuggwa nga eggombola ya Kamuswaga ey'eByakabanda nga y'emmezze amagombolola amalala. 

Entatembwa yasiimye n'ekwasa abaami b'amagombolola gonna 12 ebikopo byabwe olw'okwetaba mu mpaka z'okwemekwa.

 

Engo y'eddembe era yasiimye neewa amagombolola agaatuuse ku mutendera gwa semi,_final ebirabo era nga bino byabakwasiddwa katuukiro w'obwakamusawaga owek. Haj Idi Kiwanuka.

 

Amagombolola agaatuuse ku semi final n'ebirabo byabwe.

 

mu Baami

RAKAI T/c=                 sseddume w'ente.

kyalulangira.                3,000,000/n'emidaali

Kasankala.                    5,000,000/n'emidaali

Lwanda.                    1000,000/ n'emidaali.

 

MU BAKYALA...................EBIRABO.

kyalulangira.......=             300,000 

Kasankala........=               600,000/ n'emidaali

Kagamba......=                1200,000/ n'emidaali

Byakabanda....=              2400,000 / n'emidaali

Katuukiro w'obwakamusawaga owek. Haj Idi Kiwanuka. yatenderezza nnyo omutindo ogw'oleseddwa mu kwemekwa kw'omwaka guno 2021.Era neyeebaza n'abazanyi empisa zeboolesezza mu mpaka z'okwemekwa.

Ye minister we byemizanyo ne Byenjigiriza mu obwakamuswaga  Kasozi Fred y'ebaziza nnyo Entatembwa olwo okulengerara ewaala n'eteekawo okumegaana kuno kuba kubagaata abavubuuka wumu.

 

Ate bbo abawanguzi  basanyuse  nnyo olwokufuna ebyabasubizibwa nga Okwemekwa kuno kutandiika mumweezi gw'okubiiri era bebaziza Engo Eyeddembe olwokuvaayo nabateera wo entekateka eno ebayamba okubagaata ate era n'okwemanya nga bo abakooki.

Era bagaseeko nti betegeffu okuteeka munkola ebyo His Royal Highness byabakubiriza naddala nga okola ennyo okuba n'akantu munsaawo era basabbye omutonzi abakumiire Kamuswaga emyaka gyonna.

 

Okwemekwa kuno nga kutandiika Kamuswaga yasiima nawa amagombolola gonna  emijjozi saako ne mipiira ate era netiimu ezatuuse ku final yazogendde Emijjozi saaka n'emipiira mubakyaala n'abaami.

 

 

    YINDA NNYO AYI KAMUSWAGA.